Amawulire

Abalwanirira eddembe lyábaana bogedde kubiva mu kubakebera Endagabutonde

Abalwanirira eddembe lyábaana bogedde kubiva mu kubakebera Endagabutonde

Ivan Ssenabulya

July 4th, 2023

No comments

Bya Juliet Nalwooga,

Abalwanirira eddembe lya baana, balaze okwelalikirira kubiva mu kyábasajja okutwala abaana bebatekakasa okukeberwa endaga butonde.

Omwogezi wa poliisi Fred Enanga, yategezeza nti bakizuudde nti ebifananyi byábaana abagambibwa okuzuulibwa nti si babasajja bitekebwa ku mitimbagano ekintu ekimenya amateeka.

Mumbeera eno waliwo nábaana abatandise okutulugunyizibwa mu maka gye bawangalira oluvanyuma lwókuzuula nti si bamumaka ago.

Kati Damon Wamara, akulira ekibiina kya Uganda Children Rights Network, alaze obwetaavu abakwatibwako ensonga eno okugyetegereza balabe engeri abaana gye bagenda okukuumibwamu eddembe lyabwe rireme kutyobolebwa.