Amawulire

Abalwanirira ebyóbulamu balabudde kukyókusala kunsimbi zébyóbulamu mu Mbalirira

Abalwanirira ebyóbulamu balabudde kukyókusala kunsimbi zébyóbulamu mu Mbalirira

Ivan Ssenabulya

June 15th, 2023

No comments

Bya Mike Sebalu,

Abalwanirizi b’eddembe ly’ebyobulamu balabudde ku kabi eggwanga ke lyolekedde olw’okusala ennyo ku mbalirira y’ebyobulamu nga bwe kirabibwa mu mwaka gw’ebyensimbi ogujja ogwa 2023/24.

Okusinziira ku mbalirira y’omwaka gw’ebyensimbi 2023/24, ensimbi eri ebyobujjanjabi obusookerwako zasaalibwako obuwumbi 3.483 okuva ku buwumbi 751.822 ezagerekebwa mu mwaka gw’ebyensimbi gwetufundikira.

Peter Echweru okuva mu kitongole ekivunaanyizibwa ku by’obulamu, eddembe ly’obuntu n’enkulaakulana (CEHURD) agamba nti okukendeera kw’embalirira y’ebyobulamu okutwalira awamu kwa bulabe nnyo naddala mu Ggwanga eririmu omuwendo gw’abantu ogukula n’ebitundu nga 3.4% buli mwaka.