Amawulire

Abalunzi b’ente abaave mu kenya batandise okudayo.

Ivan Ssenabulya

March 26th, 2018

No comments

Bya Steven Ariong.

E Karamoja tutegezedwa nga abalunzi abasoba mu 8,000 abaava mu Kenya  okujja mu uganda bwebasengusse nebadda  kubutaka, nga kino kidiridde enkuba okutandika okutonya.

Bano beebamu kwabo  abasoba mu 70,000  abajja mu uganda nga balina ente 127,000 era nga bamaze wano omwaka mulamba.

Twogedeko ne Peter Logiro  nga ono ye mubaka wa president e  Kaabong  n’agamba nti bano bakyali bangi mu uganda, wabula bafunye esuubi nti baakudda kubutaka gyebaava.

Kinajukirwa nti bano baduka okujja mu uganda  oluvanyuma lwekyeya okukaza omuddo gwonna gwebaalina.