Amawulire

Abalongoosa ku kisaawe Entebbe beediimye

Ali Mivule

April 2nd, 2014

No comments

 

eNTEBBE 2

Abakozi okuva mu kkampuni ya Guardian Services Limited  ng’eno yeeyapatana okulongoosa ekisaawe ky’entebbe beediimye.

Bano bawakanya eky’okulwaawo okusasula omusaala n’okukolera mu bugubi nga tebalina nga bikozesebwa omuli gloves.

Bano bagamba nti aba’ kkampuni eddukanya ekisaawe eya Civil aviatin authority basasula kkampuni eno nga bukyaali naye nga bbo kati bamaze emyezi esatu nga tebsasulwa

Olwaleero bakedde ku mirimu wabula nga tebalina kebkutteko era ng’ekisaawe kikyaafu

Amyuka akulira kkampuni ya GSL Catherine Nakanyike agaanye okubaako neky’anyega ku nsonga eno.