Amawulire

Abalina okuganyulwa mu nsimbi za PDM e Butebo bakaaba

Abalina okuganyulwa mu nsimbi za PDM e Butebo bakaaba

Ivan Ssenabulya

July 12th, 2023

No comments

Bya Musasi waffe,

Abalina okuganyulwa mu nsimbi za Parish Development Model mu Disitulikiti y’e Butebo bakaaba  oluvannyuma lw’okuyimiriza okugaba ensimbi olw’ebigambibwa nti waliwo ensobi ezaakolebwa mu kwewandiisa.

Gavumenti yafulumizza ensimbi za PDM eri disitulikiti eno ezibalirirwamu obuwumbi 6 kyokka ssente zino zikwamidde ku akawunti za Sacco kuba teziyinza kuggyibwayo olw’ebiwandiiko ebikyamu ebigambibwa nti byayingizibwa mu sisitiimu.

James Okurut ssentebe wa LC5 mu disitulikiti y’e Butebo akakasa bino n’agamba nti ssente zino zaali zigendereddwamu okuweebwa ebibinja 61 ebyasunsulwa okuva mu disitulikiti yonna kyokka nga zikyali ku akawunti mu bbanka ez’enjawulo.

Okurut agamba nti ensonga eno egenda kukolebwako mu bbanga lya wiiki bbiri.