Amawulire

Abalina endwadde ezitawona bagala buyambi

Ali Mivule

November 5th, 2014

No comments

Hospice

Omuwendo gw’abalwadde abalina endwadde ezitawona nga beetaaga obujjanjabi obwenjawulo bweyongedde Okusinziira ku kibiina ekibudabuuda abalina endwadde ezitawona ekya Hospice Africa Uganda , abalwadde abali mu 250 beebetaaga okuyamba Omukulu mu kibiina kino Dr. Eddie Mwebesa agamba nti ku bano, ebitundu kkumi bokka beebayambiddwa Mwebesa agamba nti abasinga ku balwadde bano balina mukenenya, kokoolo ne sukaali. Wano webasinzidde nebakwatagana ne kkampuni ya yinsuwa eya NIC okutuusa obuyambi eri abantu bano . Mu nteekateeka eno, kkampuni ya NIC yakuwaayo abakozi baayo okuyambako mu kubudabuuda abantu bano.