Amawulire

Abalimi bómukyeere e Lwengo basse Nggaali 11

Abalimi bómukyeere e Lwengo basse Nggaali 11

Ivan Ssenabulya

July 18th, 2023

No comments

Bya Malik Fahad,

Poliisi e Lwengo etandise okunoonyereza ku abalimi bómukyeere abatannamanyika e Lwengo gyebawaddemu obutwa Nggaali 11 nezifa n’okulumya abalala 8.

Bino bibadde mu byalo bibiri okuli Kikonge ne Nabyewanga mugombolola ye mu disitulikiti y’e Lwengo.

Okusinziira ku Gilbert Tayebwa akulira enteekateeka y’okukuuma ebinyonyi mu Africa mu kitongole kya International Crane Foundation ekivunaanyizibwa ku kukuuma nggaali mu nsi yonna, baategeezeddwa ttiimu z’entobazzi z’ebyalo ezassibwawo mu disitulikiti eno okuyambako mu kukuuma ebinyonyi bino.