Amawulire

Abalimi bémmwanyi bekokkodde embeeyi ey’awansi mu Katale

Abalimi bémmwanyi bekokkodde embeeyi ey’awansi mu Katale

Ivan Ssenabulya

January 26th, 2023

No comments

Bya Abubaker Kirunda,

Abalimi bemmwannyi mu disitulikiti y’e Mayuge basabye gavumenti eyingire mu nsonga z’ebbeeyi yémmwanyi eyongedde okuggwa ku katale.

Abalimi bagamba nti kkiro y’emmwanyi  ezirongosebwamu kati egula Shs4500 okuva ku Shs6000.

Abalimi bano nga bayita mu ssentebe wabwe mu bitundu by’e Baitambogwe, Tomusange Musobya bagamba nti obudde bungi obugenda mu kulinda emmwanyi okukula kyokka ate bwezikula kibamalamu amaanyi ate bbeeyi okukka

Musobya agamba nti ebbeeyi eriwo kati ebakozesa nga gavumenti esaana okubataasa olwamaanyi gabwe gebatekaamu