Amawulire
Abalimi bémmwannyi bekubidde enduulu
Bya Ndaye Moses,
Abalimi bemwannyi basabye babeewo enkola eyokutumbula okugatta omutindo ku kirime kino.
Okusinzira ku senkulu wékibiina ki Inspire Africa Coffee, Nelson Tugume ekyokutumbula ebyobulimi awamu awatali ku tunulira kya kugatta mutindo ku birime tekigenda kuyamba gavt kutukiriza kirooto kyayo ekyokumalawo ebbula lye mirimu mu bavubuka.
Bino abyogedde ayogerako na bakyala abali mu kirime kyemmwanyi wano mu Kampala,
Tugume akinoganyiza nti ekyokugatta omutindo ku kirime kino kyakubayambanyo ne ggwanga okutwaliza awamu okwongera okufuna akatale ka kaawa
Mu kiseera kino ekirime kye mmwanyi kikola ebitundu 6.7% ku byamaguzi ebitundibwa ebweru weggwanga.