Amawulire

Abalimi baweereddwa amagezi kunkuba etandise okutonya

Abalimi baweereddwa amagezi kunkuba etandise okutonya

Ivan Ssenabulya

March 1st, 2023

No comments

Bya Prossy Kisakye,

Ekitongole ekivunanyizibwa ku ntebereza y’obudde mu ggwanga ki Uganda National Meteorological Authority kirabudde bannauganda ku Nkuba etandise okutonya season eno nti yakutuuka mu mwezi ogw’okutano omwaka guno nga efudemba.

Bano bagamba nti mu bitundu ebimu yandibamu kibuyaga omungi, Omuzira, Amataba saako ne laddu.

Lilian Nkwenge Omwogezi w’ekitongole kino asabye ministule evunaninyibwa ku bigwa bitalaze okulungamya bannauganda ku nkuba etandise okufudemba.

Wabula Ono ategezeza nti mu bitundu ebya mambuka ga Uganda enkuba egya kuba nsamusamu.

Era asabye abalimi mu ggwanga okweyambisa enkuba eno balembeke amazzi ate agayiza okubayamba mu biseera nga enkuba tekyatonya era n’alabula ne kundwadde eziyinza okubalukawo mu budde bw’enkuba.