Amawulire

Abalimi baweereddwa amagezi balime ebikula amangu-Teri nkuba

Abalimi baweereddwa amagezi balime ebikula amangu-Teri nkuba

Ivan Ssenabulya

September 3rd, 2022

No comments

Bya Mike Sebalu,

Abakugu muntebereza y’obudde bawadde abalimi amagezi okulima ebirime ebikula amangu nebyo ebiggumira ekyeya.

Abakugu bano basinzidde mulukungaana lwabwe olukwata kumbeera y’obudde ku imperial resort beach Entebe nebagamba nti enkuba esubirwa mu mwezi guno ogw’omwenda ne mugwekkumi okutuuka mumakati g’omwezi ogwekkumi n’ogumu tesanye kweyinuza balimi kulima birime birwawo okukula.

Bataze James omukugu mumbeera yobudde okuva mukitongole kin, atubulide ezimu kunsonga ezigenda okuleetera enkuba eno okubeera entono nga y’embeera yobunyogovu kuliyanja erya Pacific ocean, ku liyanja lya indian ocean awamu nembeera yobutonde bwaffe wano mu Uganda.

Ono era awadde abantu abawangalira munsozi amagezi okuzamuka kubanga wasuubirwayo okubumbulukuka kwettaka n’amataba.

Abo abalimira muntobaazi balabudwa obutalimiramu kubanga bayinza okufiirwa olw’amataba agayinza okwonona ebirime byabwe.