Amawulire

Abalimi Ba’majaani Babanja Gavumenti

Ivan Ssenabulya

May 14th, 2017

No comments

Bya Ivan Ssenabulya

Abalimi bamajaani okuli nabamerusa endokwa abasoba mu 300 mu district ye Kanungu batanudde okubanja government ensimbi zaabwe ezisoba mu bukadde 40 nga balumiriza akulira emirimu nabakozi ba gavumenti oba Chrizestom Kayise okudibaga entekateeka eyokubasasula.

Omukulembeze we gwanga Yoweri Museveni mu mwaka gwa 2008 yatongoza okjlima amajaani oluvanyuma lwabatuuze okumutegeeza nti eno yenkola, yokka gyebajja okuyitimusaamu ebyenfuna byabwe, wano omukulembeze we gwanga nasubiza obuyambi bwa gavumenti gyebali.

Kati president Musevani yalagira abamerusa amajaani okugagabira abalimi nti gavumenti yali yakubasasula mu Kigezi nebitundu bya Ankole.

Ssentebbe wa district ye Kanungu Josephine Kastya asinzidde mu lukiiko nabalimi bamajaani nalaga okutya nti wandibaawo abakozi ab gavumenti abefunyiridde okugotaanya entekateeka eno.

Kati ye CAO ayogerwako era gwebalumiriza okugotanya ebyokubasasula teyetabye mu lukiiko luno.