Amawulire

Abalimi ba Vanilla balabuddwa ku mutindo

Abalimi ba Vanilla balabuddwa ku mutindo

Ivan Ssenabulya

December 13th, 2022

No comments

Bya Benjamin Jumbe,

Minisita Omubeezi avunanyizibwa ku by’obulimi Fred Bwino Kyakulaga, alabudde nga gavumenti bwegenda okuteekawo ebibonerezo ebikakali eri abantu abefunyiridde okunyaga Vanilla wa bannabwe okuva ku misiri.

Ebibonerezo bino byakugenda n’eeri bannyini Vanilla abamukungula nga tanatuuka ekiviirako okwonooneka kw’omutindo.

Minisita abadde ayogerako eri aba’amawulire ku Media Centre mu Kampala, agamba nti okutandika ne nga 10 January 2023, abalimi ba Vanilla lwebagenda okutandika okumukungula mu butongole okwetoloola eggwanga.

Agamba nti bino byonna bigendereddwamu kulaba ng’omuntindo gwa vanilla teguddilira ku katale olw’abantu abaagala ensimbi ez’amangu.

Uganda ekwata ekifo kya 15 mu nsi yonna mu mawanga agamanyiddwa okulima Vanilla nga efulumya metric tonnes 600 omwaka nga ziyingiza kuno obukadde bwa doola 10 bulamba.