Amawulire

Abalimba poliisi ku bijambiya bavunaniddwa

Abalimba poliisi ku bijambiya bavunaniddwa

Ivan Ssenabulya

September 14th, 2021

No comments

Bya Gertrude Mutyaba

Omulamuzi wa kooti esooka e Masaka Arthur Ziraba ayongeddeyo okuwuliriza okweyimirirwa kw’abantu 3 abagambibwa nti baawa poliisi amawulire amakyamu.

Oludda omuwaabi nga lukulembeddwamu Opia Caroline lutegeezezza kooti nti abavunaanwa, okuli Muwonge Vincent, Francis Kayemba ne Peter Ocheng nga 28 omwezi ogwomunaana, baawa omusirikale wa poliisi Paul Nkore, aduumira poliisi mu ttundu ttundu lya Masaka amawulire agobulimba agekuusa ku bijambiya.

Kati bano baleeteddwa mu kooti okusaba okweyimirirwa kyokka omuwaabi wa gavumenti ategeezezza kooti nga file bwekyali ku poliisi ngayagala aweebwe akadde okwetegereza file omulamuzi Ziraba kyakkiriziganyizza nakyo.

Abavunaanwa bategeezezza omulamuzi nga bwebalina endwadde ezibaluma, ngomulala agambye nti alina omukyala owolubuto olukulu eyetaaga okulabirirwa.

Okusaba okweyimirirwa kw’abano kwakuddamu okuwulirwa ku Lwokuna nga 16 omwezi guno.