Amawulire
Abaliko obulemu nab’embuto bakubongeramu edakiika 45
Bya Damalie Mukhaye
Ekitongole kyebigezo mu gwanga, Uganda National examination board kitegezezza nti abayizi abaliko obulemu, nabembuto abagenda okukola P7 bagenda kubongeramu edakiika 45.
Bwabadde ayogera ne bannamawulire, Ssabawandiisi wa UNEB Daniel Odongo agambye nti abayizi 1,599 bebawandisibwa nga baliko bulemu, nga betaaga obuyambi obwenjawulo.
Kino agambye nti kyakukolebwa kubanga embeera yaabwe ssi nnungi bwogerageranya ku banaabwe abalala.
Olwlaeero wabaddewo okulambika abayizi ku byamateeka oba Briefing, okwetoloola egwanga.
Ebigezo bigenda kutandika ku Bbalaza wiiki ejja, ngabayizi eitwalo 74 mu 9,811 bebwanadiisa.