Amawulire

Abaliko ababaka mu palamenti baddukiriddwa

Abaliko ababaka mu palamenti baddukiriddwa

Ivan Ssenabulya

January 16th, 2023

No comments

Bya Mike Sebalu,

Office y’omumyuka w’omukulembeze w’eggwanga ng’eri wamu ne Officie ya Nampala wa Gavumenti ziduukiridde ekibiina ekigatta abaaliko ababaka mu Parliament y’omwenda n’obukadde bwezakuno 35 zibayambeko okwekulakulanya.

Ekibiina ekino kikulemberwa eyali Omubaka wa Tororo Municipality u Parliament Sanjay Tanna ng’amyukibwa eyali owa Bubuulo East Simon Mulongo.

Kyatondebwawo oluvanyuma lw’ababaka okukitegeera nga bwebaatalina nvujjilira ndala yonna kavuna bawanduka mu by’obufuzi era ng’omukolo gubadde ku Hotel African mu Kampala.

Ekibiina kino kati kyakulwanilira okulaba nga abaali ababaka bano baliko engeri gyebasobola okwekulakulanya n’okukitegeera nti ababaka abali wakati wa 50-70 bebagwa mu buli kalulu.

Nampala wa Gavumenti Hamson Obua nga yakiikiridde Omumyuka w’omukulembeze w’eggwanga, yayanjulidde bano ettu ely’obukadde 35 n’abasaba okuzikozesa obulungi okusobola okuziganyurwamu.