Amawulire

Abali mu East Africa bagobwe

Ali Mivule

December 1st, 2014

No comments

Ziwa explains

Ab’ekibiina kya FDC bagaala ababaka ba Uganda bonna abali mu palamenti ya East Africa bagobwe

Kino kiddiridde okugobwa kwa sipiika Margret Zziwa n’asikizibwa Chris Opoka okumala ennaku 21 zebagenda okumala nga bamubulirizaako

Omwogezi w’ekibiina kya FDC John Kikonyogo agamba nti ababaka bano baakusigala nga battattana ekifananyi ky’eggwanga ssinga tebakolebwaako

Kikonyogo agamba nti eby’abakulembeze b’amawanga okuyingira mu nsonga tekijja kuyamba