Amawulire

Abalamuzi ba Kkooti ejjulirwamu bali Masaka

Abalamuzi ba Kkooti ejjulirwamu bali Masaka

Ivan Ssenabulya

June 8th, 2023

No comments

Bya Gertrude Mutyaba,

Amyuka Ssaabalamuzi wa Uganda Richard Buteera ng’ali wamu n’abalamuzi ba kooti ejulirwamu okuli Omulamuzi Catherine Bamugemereire n’omulamuzi Eva Kavuma bali ku kkooti e Masaka gyebagenda okumala ennaku bbiri nga bawulira okujulirwa okwakolebwa abasibe abaasingisibwa emisango.

Abalamuzi bano baakuwulira emisango okuli egy’obutemu 14, egy’obubbi 6, egy’okukabasanya abaana abataneetuuka 8, n’ogwokusobya ku muntu omukulu 1 nga gino gyasalibwa mu mwaka gwa 2013, 2014 ne 2015.

Amyuka Ssaabalamuzi asinzidde wano naategeeza nga emisango gino bwejirwawo okuwulirwa olw’abalamuzi abatono ennyo.

Agambye nti bali mu kukola ekisoboka okulaba nga babongera abalamuzi ba kooti ejulirwamu okutuuka ku balamuzi 58 kibasobozese okukwasaganya emisango mu budde.

Ono ategeezezza nti balina kaweefube gwebaliko okulaba nga bateekawo kooti ezijulirwamu mu zi district okuli Masaka, Mbale, Arua, Mbarara ne Jinja okwanguya obuweereza.