Amawulire

Abalamuzi 5 bebagenda okuwulira ogwe’kkomo ku myaka

Ivan Ssenabulya

March 27th, 2018

No comments

Bya Ruth Anderah

Kooti etaputa ssemateeke eronze ekibinja kyabalamuzi 5 abagenda okuwulira omusango  gwabantu abawakanya ekyokujja ekomo ku myaka gyomukulemebeze we gwanga.

Abalamuzi abalondeddwa kuliko amyuka ssabalamuzi  Alfonse Owiny Dollo, Remmy Kasule, Elizabeth Musoke, Kenneth Kakuru ne Cheborion Barishaki.

Wabula era basazeewo okukyusa olunaku oluibadde lugenda  okutandika okuwulirirako omusango guno, okuva nga 4th April okudda ku lunnaku lwa 9th April 2018, nga kitegezeddwa nti lwelugenda okwanguyira abantu bonna.

Ku nsonga yekifo okubeera wala, omulamuzi Dollo  agambye nti tekimenya mateeka, ngabagamba nti wala tebalina nsonga.

Kinajukirwa nti abatuuse okwemulugunya kwabwe mu kooti  nga kuno kuliko banamateeka aba Uganda Law society, ababaka abavuganya gavumenti ne munna-Uganda owabulijjo Male Mabirizi.

Bano bawakanye engeri ekkomo ku myaka gyomukulembeze we gwanga gyelyajjibwa ku ssemateeka.