Amawulire

Abalala bagaanye okubalibwa

Ali Mivule

September 3rd, 2014

No comments

Census

Poliisi e Ssembabule eriko abantu abalala 3 bekutte nga bebamu ku kidiinidiini kya Injiri ekigaana okubala abantu.

Abakwatiddwa kuliko  Winfred Tumushabe, Jonathan Tuberuka ne  Devine Katushabe .

Bano baaganye okubalibwa nga beekwasa nga eddiini yaabwe bwetabakkiriza nga era okubalibwa kikolwa kya sitaani.

Akulira eby’okubala  e Sembabule Frank Batte ategezezza nga bweyaloopye ku poliisi amangu ddala nga abantu bano bagobye abaabadde bagenze okubabala.

Yye akulira okunonyereza ku misango e sembabule , Geoffrey Mwiima agamba bkayanonyereza nekubiganmbibwa nti ekidiinidiini kino tekikiriza bagoberezi baakyo kwewandiisa kufuna ndagamuntu ; okugemebwa n’enteekateeka za gavumenti endala.