Amawulire

Abalaalo batandise okusenguka mu mambuka g’egwanga.

Ivan Ssenabulya

May 2nd, 2018

No comments

Bya  Patrick Ebong.

 

 

Tutegeezeddwa  nga abalaalo abaali beesibye mu mambuka ge gwanga  bwebamazze okwamuka ebitundu nga  Lango, Acholi ne  West Nile  nga  ne nsalesale eyabaweebwa tanagwaako.

Twogedeko ne Maj Telesphor Turyamumanya ayogerera amagye ga UPDF mu kibinja eky’okuna n’agamba nti ente ezisoba mu 42,000 zimaze okwamuka ekitundu kino.

Kinajukirwa  nti bano omukulembeze we gwanga yali abawadde omwezi gumu gwokka okwamuka ekifo kino, kyoka bebetutte bokka.