Amawulire

abakyala tebalina kusasulwa- Ba ddembe lya bakyala

Ali Mivule

September 16th, 2014

No comments

activists visted

Okuwulira okujulira okwatwaalibwa abakyala wansi w’ekibiina kya MIFUMI nga bagaala eby’okusasula abakyala nga babawasa biveeyo

Kkooti etaputa ssemateeka yagoba okusaba kwa bano ng’egamba nti kiri mu nnono abakyala okusasulwa kale nga tewali nsonga lwaki kivaawo.

Aba MIFUMI bagaala kkooti esazeemu ebyasalibwaawo kkooti nga bagamba nti abasajja bajooga abakyala kubanga baba babasasudde

Munnamateeka w’abakyala bano Ladslous  Rwakafuzi  ategeezezza abalamuzi omusanvu aba kkooti y’okuntikko nti tebagaala okusasula abakyala kuviire wo ddala wabula kaleme kubeera kakwakkulizo okugaba omuwala kubanga baba nga gwebatunze

Wabula ssabawolereza wa gavumenti yye agamba nti ebyasalibwaawo kkooti ya ssemateeka bikulu kubanga ebivaako okutulugunya abakyala bingi nga n’abatasasulwa era batulugunyizibwa

Gavumenti era egamba nti amateeka gakkiriza obufumbo bw’ennono kale ng’ababyagaala basobola okukola obufumbo bw’ekika ekirala

Abalamuzi kati bakulangirira olunaku lwebanaweerako ensala wo yaabwe