Amawulire

Abakyala beekalakaasizza- poliisi yakukwata ababambula

Ali Mivule

February 26th, 2014

No comments

 

mini skirt two

Abalwanirira eddembe ly’abakyala mu ggwanga olwaleero beekalakaasizza nga bavumirira eky’okwambula abakyala.

Bano ababadde ku kibangirizi kya National theater bategeezezza ng’etteeka eriwera enkunamyo bwerirwo okunyigiriza omukyala era nga tebajja kulikkiriza

Bano kuvaayo kiddiridde abakyala 3 okwambulwa mu kampala wano , amangu sdala nga ettteeka ku buseegu lyakayisibwa

Eyaliko minister akola ku byempissa n’obuntu bulamu, Miria Matembe y’akulembedemu abakyala bano abakambwe abazze nga bambadde enkunamyo ezawerebwa

Bano bagenze okwemulugunya nga ne ssenkaggale wa Poliisi Gen Kaihura yakawera nga bwebagenda okutandika okukwata abambala enkunamyo.

Kaihura agambye nti tewaliiwo akkirizibwa kutwalira mateeka mu ngalo era nga bamaze okulagira abakulira poliisi okutabukira abo abambula abakyala