Amawulire

Abakyala batabuse ku Mafuta

Ali Mivule

October 10th, 2014

No comments

Taxes on kerosene

Waliwo ekibinja ky’abakyala abalumbye palamenti olunaku olwaleero nga bawakanya eky’okuzzaawo omusolo ku mafuta g’ettaala

Palamenti ssabbiiti eno yazzaawo omusolo gwa shs 200 ku buli liita y’amafuta egulibwa yadde ng’ababaka bonna awatali kwetamamu basooka kuwakanya musolo guno

Bino byonna byaddirira pulezidenti Museveni okusimba nakakongo nti omusolo guno gulina okubaawo okuvaamu omusolo ogunayamba okussa mu nkola enteekateeka ya gavumenti ey’okussa amasanyalaze g’enjuba mu byaalo

Abakyala balumiriza nti omusolo guno gugenda kwongera kukosa banaabwe ababeera mu byaalo kubanga beebasinga okwetaaga amafuta gano

Abakyala bano bagamba nti ne mu malwaliro agawera mu byaalo bakozesa ttaala za mikono ezikozesa amafuta kale embeera yakwongera kutabuka ssinga amafuta galinnyisibwa

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *