Amawulire

Abakyala batabukidde minisita

Ali Mivule

September 25th, 2013

No comments

minister Kibuule

Ebibiina ebirwanirira eddembe ly’bakyala biwanda muiro ku byayogeddwa minister omubeezi owa bavubuka n’ensonga z’abaana Ronald Kibuule .

Kibuule yategeezezza nga abakyala abasobezebwako nga bambadde enkunamyo bwebasaana okugulwako emisango kubanga bebakema babasajja mu kikolwa kino.

Ebibiina bino ebibadde bisoba mu 20 biragidde Kibuule yetonde oba ssi kyo bakutandika okukunganya e mukono okumujjamu obwesige.

Omukwanaganya w’emirimu mu kibiina ekirwanyisa obutabanguko mu maka ekya , Center for domestic violence prevention, Brenda Bagonza agamba bakukwanga sipiika wa palamenti ekiwandiiko nga basaba nti omubaka ono akangavvulwe.

 

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *