Amawulire
Abakyala basobodde okufuna obwannanyini ku ttaka- Alipoota
Bya Benjamin Jumbe,
Gavt esabiddwa okwongera ensimbi muntekateeka esobozesa buli muntu okuba n’obwannayini ku ttaka.
Kino kidiridde alipoota efulumizidwa ekibiina kya
Oxfam okulaga nti oluvanyuma lwa gavt okuvaayo ne ntekateeka egaba satifiketi eraga obwannanyini kuttaka, abakyala abalina ettaka tebakyanyigirizibwanyo.
Alipoota eraze nti bukya ntekateka eno ebagibwawo omuwendo gwa bakyala abawambibwako ettaka lyabwe gukendedde okuva ku bitundu 59%- 6%
Bwabadde ayogerera mu kutongoza alipoota eno akulira ekibiina kino wano mu ggwanga Francis Odokorach, asabye gavt okwongeramu ensimbi abakyala abalina ettaka basobole okufuna satifiketi eziraga obwannanyini basobole okulikozesa okulabirira famile zabwe.