Amawulire

Abakyala bakyeetya

Abakyala bakyeetya

Ali Mivule

February 2nd, 2016

No comments

File Photo: Abakyala nga baali mukibinja

File Photo: Abakyala nga baali mukibinja

Omuwendo gw’abakyala abetaba mu by’obufuzi kizuliddwa nga bwegukyali omutono ddala.

Kino kyelokedde mu alipoota efulimiziddwa ekibiina ekilafubanira eddembe ly’abakyala ekya Uganda Women Network organizations.Okusinziira ku alipoota eno , omukyala omu y’avuganya n’abasajja 7 ku bwapulezidenti kale nga kyetagisayo abalala okuvaayo .

Bwekituuka ku bukiise mu palamenti, abakyala 83 bokka bebavuganya n’abasajja 1223 .

Ku bukulembeze bwa disitulikiti, abakyala 7 bokka bebavuganya n’abasajja 372.

Bw’abadde afulumya alipoota eno, akulira ekibiina kino Ritah Aciro omuwendo omutono akitadde ku bakyala butaba na nsimbi zimala kwesimbawo sso nga n’endowooza z’abasinga nti abakyala ekifo kyabwe kiri mu biyungu by’amaka gaabwe kizizzanyo abakyala emabega.

Aciro agamba abakyala bangi batya okutulugunyizibwa kale nga tebasobola kukuba kampeyini kumala ebbanga ppanvu olw’obuvunanayiaibwa obungi bwebalina ewaka.