Amawulire

Abakyala baagala alipoota ku kuttibwa kwabanaabwe.

Ivan Ssenabulya

March 8th, 2018

No comments

Bya samuel ssebuliba.

Minister akola ku nsonga z’ekikula ky’abantu  omukyala Janet Mukwaya  atenderezza abakyala olw’okubeera abasaale mukulwanyisa mukenenya, nga ono kaakano aganze akendeera mubuzito.

Minisita agamba nti abakyala b’egwanga abalina akawuka kano eby’okumira edagala bakitutte nga ekikulu, wabula nga abasajja bo bakyali bamunyoto.

Ate bo abali mu kakiiko akataba abakyala mu gwanga aka National women council kasabye omukulembeze we gwanga okuteeka amaanyi mukunonyereza kukitta bakyala, ko n’okuwamba okugenda mu maaso wano mu gwanga.

Bwabade asoma obubaka obuvude mu kakiiko kano, omubaka Asamo Hellen Grace nga ono yakikirira abantu abaliko obulemu ku mibiri gyabwe agambye nti  abakyala bangi abazze batibwa , wabula nga mpaawo ayamba, kale nga ekyamanggu kyetagisa okukolebwa.