Amawulire

Abakyala ba DP bagala abakungu ba gavt abakyala abenyigidde mu mivuyo gyé Karamoja balekulire

Abakyala ba DP bagala abakungu ba gavt abakyala abenyigidde mu mivuyo gyé Karamoja balekulire

Ivan Ssenabulya

March 7th, 2023

No comments

Bya Prossy Kisakye,

Abakyala okuva mu kibiina ekiri ku ludda oluvuganya gavumenti ekya Democratic Party basabye abakungu ba gavumenti bonna abakyala abeenyigira mu nsonga zókukupanya obuyambi obwali bulina okujjuna abawejere be Karamoja balekulire ebifo byabwe mu bwangu.

Omulanga guno gujjidde mu kiseera nga sipiika wa palamenti yalagira dda akakiiko ka palamenti akakola ku nsonga za pulezidenti okunoonyereza ku bigambibwa nti waliwo abanene mu gavumenti abegabanya obuyambi obwali bulina okugenda e Karamoja nga muno mwalimu amabaati, emmere n’embuzi.

Okusinziira ku mawulire minisita avunaanyizibwa ku nsonga z’e Karamoja, Mary Gorreti Kitutu obuyambi buno yabukwata bubi ne busibira mu mukono abakungu ba gavumenti okuli ne baminisita.

Kati mukwogerako eri bannamawulire ku ofiisi z’ekibiina kya DP mu Kampala, Akulira ekiwayi kya bakyala mu DP, Aisha Waliggo avumiridde abakyala mu gavumenti okwenyigira mu bukumpanya buno n’ategeeza nti nga bamaama beggwanga bandibadde basaasira abantu abataliiko mwasirizi mu kitundu kye Karamoja ne batuusa obuyambi bwabwe.

Ono agambye nti ekikolwa kino kyaswaza nyo abakyala mu ggwanga naddala abali mu bukulembeze era asabye gavumenti okunoonyereza ku nsonga eno mu bwangu n’okukwata abo bonna abakwatibwako.