Amawulire
Abakyala abatembeeyi bakubangulibwa
Bya Prossy Kisakye, Ekibiina kyobwannakyewa ekya Gal forum international (GAFI) nga kiri wamu n’ekitongole kya kcca kigenda kudamu okuwandiisa abakyala abatembeeyi b’omu kampala babangulibwe mu misomo gye by’emikono
Okusinzira ku Nnankulu w’ekibiina kino esther Namboka enteekateeka eno yakusolooza abakyala 250 abali ku mbalaza ne mu butale ne kigendegererwa eky’okubabangula emirimu gy’omutwe basobole okuva mu byokutembeeya.
Enteekateeka eno yatandika mu mwaka gwa 2017 era abakyala abatembeeyi bangi abaganyudwa muntekateeka eno.
Namboka atutegezeza nti okuwandiisa abakyala bano kutandika ku lunaku lwa balaza mu bifo ebiri okumpi ne webakolera okuli Nakasero, Kalerwe, Owino, Bugoloobi, Nakawa, and Wandegeya.
Wabula ono atutegezeza nti balina okusomozebwa kwokufunira abakyala bano entandikwa nga bamaze okutendekebwa ekibawaliriza okudda mu butembeeyi.