Amawulire

Abakyala abali mu bukulembeze basabiddwa okuyambako banabwe

Abakyala abali mu bukulembeze basabiddwa okuyambako banabwe

Ivan Ssenabulya

November 14th, 2022

No comments

Bya Kiguli Diphas,

Abakyala abali mu bifo by’obuyinza basabiddwa okubuulirira n’okuwagira abakyala abalala okukulaakulana mu mirimu gyabwe ng’engeri y’okusitula ebifo by’abakyala mu kitundu byabwe

bino byogeddwa Rosette Nabbumba eyali Gavana wa Rotary District mu Uganda, omukyala eyasooka okuweereza mu kifo ekyo era mu kiseera kino ye Ssentebe wa Board ya Rotary Fellowship for Empowering Women egenderera okuwagira abakyala okuzuula obusobozi bwabwe obujjuvu okutwala obuvunaanyizibwa obw’enjawulo n’okutwala ebifo by’obukulembeze mu ggwanga.

Nabbumba alaga nti newankubadde kaweefube ateekeddwa ku mutendera gw’eggwanga n’ensi yonna okusitula embeera y’abakyala mu kitundu naye mu bintu eby’enjawulo abakyala bakyatwalibwa ng’ekikula ekinafu, bwatyo alaze obwetaavu bw’okwongera ku buyambi bw’abakyala naddala oluvannyuma lw’omuggalo gwa covid nga bangi baafiirwa emirimu