Amawulire

Abakyala 8 bakwatiddwa nga bekalakaasa olwa Bugingo

Abakyala 8 bakwatiddwa nga bekalakaasa olwa Bugingo

Ivan Ssenabulya

July 15th, 2019

No comments

Bya Nobert Atukunda

Poliisi mu Kampala eriko abantu 9 bekutte ababadde bekalakaasa, nga bavumirira ebikolwa byomusumba we kanis ya House of Prayer Ministries, Aloysius Bugingo nga bagala yetonde olwebyo byeyayogedde okwanika nokuvvoola mukyala we.

Abakwate kuliko abakyala 8 nomusajja omu ategerekeseeko nga Edison Kakuru president Makerere University School of Education nga baakwatidde ku Bat Valley P/S mu Kampala webabadde bakunagnidde okusimbla bolekere ku palamenti.

Kino kyadiridde omusumba Bugingo okutegeeza nti mukyala we Teddy Bungingo yatonnya aokumala emyaka 10, ngensimbi nnyingi zakozesa okugul pamba, ekyaje abalwanirizi be ddmb naddala abakyala mu mbeera.

Abakwate kati bakumibwa ku poliisi ye Wandegeya ng’okunonyereza kugenda mu maaso.

Bano bakwaiddwa nebipande ebiwandikiddwako ‘Justice for women #Teddy deserves Justice’ nokusaba akakiiko kebyempuliziganya mu gwanga aka Uganda Communications Commission, okukoma ku Bugingo ne byagenda ayogerera ku mikutu gye egyamawulire.