Amawulire

Abakwatiddwa nga bagula ku batembeeyi bavunaaniddwa

Ali Mivule

April 30th, 2014

No comments

vendor

Abantu 15 abaakwatiddwa nga bagula ku batembeeyi basimbiddwa mu kkooti

Bano bagguddwaako misango gyakukolagana n’abatembeeyi mu kulemezaawo ensuubula emenya amateeka

Bano beebasoose okuvunaanibwa wansi w’etteeka lya KCCA eppya erigendereddwaamu okukoma abantu okutundira ku makubo

Abavunaaniddwa babadde basajja na bakyala abasuuze mu kkomera ekiro kyonna.

Bano wabula balagiddwa okussa mu buwandiike okwetonda nti tebajja kuddamu kukikola

Bbo aba kampala capital city authority bazzeemu okulabula abantu ku kugula ebyamaguzi ku batembeeyi