Amawulire

Abakwatibwa mu bikwekweto basimbiddwa mu mbuga

Abakwatibwa mu bikwekweto basimbiddwa mu mbuga

Ivan Ssenabulya

March 3rd, 2023

No comments

Bya Ruth Anderah,

Abantu abawerera ddala makumi 38 a bakwatiddwa mu bikwekweto mu Kampala basimbiddwa mu Mbuga z’amateeka.

Bano nga bakulembeddwamu Sagal Robert basimbiddwa mu maaso g’omulamuzi we daala erisooka ku Buganda Road Asuman Muhumuza abasomedde omusango ogokwefuula ekitagasa nebabyegaana.

Kigambibwa 38 bano bakwatibwa nga February 28th 2023 mu Kibuga wakati.

Kkooti ekitegedeko nti sawa nga emu eyekiro bano beyisa mu ngeri etagasa nga bawogana wamu n’okuziba enguudo z’abantu.

Kati bakudizibwa mu kkooti nga March 7th 2023 omusango gweyongere okuwulirwa.