Amawulire

Abakwata obwenyanja obuto bakwatiddwa

Ali Mivule

April 9th, 2014

No comments

fishnets

Abakulira okulwanyisa envuba embi ku kitundu kye Mukono baliko abantu babiri bebakutte nga banno basangiddwa nga batambuza obweyanja obuto.

Abakwate kuliko Robert Kabalebe  nga muvubi ku mwalo e Katosi ne Brian Mayanja nga muvuzi wa bodaboda.

Bonna batuuze be Kasanje.

 Akulira ebikwekweto by’okulwanyisa envuba embi mu disitulikti eno ttaano  James Kitaaka ategezezza nti yadde bafubye okusomesa abavubi akabi akali mu kuvuba obwenyanja obuto naye beremye.

Agasseeko ng’abakwate bwebagenda okutwalibwa mu kkooti bavunaanibwa ogw’okutambuza obweyanja obuto.