Amawulire

Abakuumi 2 basindikiddwa mu Komera lwa bubbi

Abakuumi 2 basindikiddwa mu Komera lwa bubbi

Ivan Ssenabulya

August 24th, 2022

No comments

Bya Ruth Anderah,

Kkooti ey’okuluguudo Buganda wano mu Kampala eriko abakuumi 2 okuva mu kampuni ya Tight Security wali e Rubaga besindise mu mbuzi ekogga lwakukizuula nti baalina omukono mu bubbi bwebizimbisibwa ebibalirirwamu obukadde bw’ensimbi 5 byebalinako obuvunanyizibwa okubikuuma.

Omulamuzi Asuman Muhumuza, yaasingisizza Lirra Erris ne Olum Stephen emisango egyekuusa ku bubbi nga yesigama ku bujulizi oubleeteddwa abantu 3 okwali eyelabirako nagage, omunoonyereza ku misango mu kampuni gyebakolera wamu n’omunoonyereza owa Police.

Kati Lirra awereddwa ekibonerezo kya mwaka mulamba n’emyezi 5 mu mbuzi ekogga kuba yeyakulira olukwe lwonna olwababba ebintu bino.

ate Stephen Olum ye awereddwa ekibonerezo kya myeezi 5 olw’emitwalo 2 gyokka gyeyagabana kwezo ezatundibwa mu munyago.

Bano omusango baguzza 16th/June/2022