Amawulire

Abakulu mu Buganda balemereddwa okusisinkana akakiiko

Ivan Ssenabulya

March 28th, 2018

No comments

Bya Shamim Nateebwa

File Photo:M7 nga akwasa mayiga ebyapa

Obwakabaka bwa Buganda butaddewo olwanga 5th April, nga gwe mwezi ogujja okusisinkana akakiiko kaba minister akatekebwawo omukulembeze we gwanga, akatunula mu ndagaano ya 2013 eyakolebwa wakati wa gavumenti nobwakabaka.

Okusinziira ku mwogezi wobwakabaka bwa Buganda, Owek. n Noah Kiyimba, babadde batekeddwa okusisinkana akakiiko kano olunnaku olwe ggulo wabula nebalemererwa.

Ennaku ntono emabega abakulu mu gavumenti ya Buganda nga bakulembeddwamu Katikkiro Charles Peter Mayiga basisinkana omukulembeze we gwanga, okumujjukiza ku ndagaano ya 2013.

Akakiiko akatekebwawo kakubirizibwa ssbaworereza wa gavumenti William Byaruhanga.

Mu ndagaano eyakolebwa mwalimu okuzza ebintu byobwakabaka okuli ettaka gavumenti byeyezza oluvanyuma lwobulumbaganyi obwakolebwa ku Lubiri mu 1966.

Ebyappa bye ttaka 293 byabyakakomezebwawo, ebimu kwebyo ebibanjibwa.

Kati babanja omugabo okuva mu JESA Farm, ennyumba ya Muteesa mu kibuga London mu gwanga lya Bungereza, omugabo okuva mu kitongole ekyali ekyamasanyalaze ekya Uganda Electricity Board nebirala.