Amawulire

Abakulu Bébika e Busoga bakuwa Ente emu buli omu ku Mbaga ya Kyabazinga

Abakulu Bébika e Busoga bakuwa Ente emu buli omu ku Mbaga ya Kyabazinga

Ivan Ssenabulya

October 20th, 2023

No comments

Bya Abubaker Kirunda,

Abakulira ebika by’e Busoga bakkiriziganyizza okuwaayo ente buli omu ku mbaga y’obwakabaka eya Kyabazinga William Gabula IV etegekeddwa nga November 18.

Kino kituukiddwaako mu lukiiko olwatudde ku kitebe ky’obwakyabazinga e Bugembe, nga lukubirizibwa minisita w’ebyobuwangwa Richard Mafumo.

Omwogezi w’abakulu b’ebika David Igulu agamba nti kino kiva ku kuba nti abakulu b’ebika be bazadde ba Kyabazinga.

Mu Busoga mulimu ebika ebisoba mu 200.