Amawulire

Abakulu b’amassomero balabuddwa ku ky’okugoba abayizi fiizi

Ali Mivule

July 4th, 2017

No comments

Bya Damali Mukhaye

Minisita y’ebyenjigiriza ebisookerwako alabudde  abakulu b’amassomero abagaoba abayizi  fiizi mu kiseera ky’okubawandiisa okugenda mu maaso.

Minisita  Rosemary Sseninde agamba abamu ku bakulu bano bakozesa akakisa k’okuwandiisa okugenda mu maaso nebagoba abayizi nti atamalayo teri kumuwandiisa.

Anyonyola nti okuwandiisa kuno tekukwatagana na  bya fiizi kubanga bbo baagala kumanya bayizi bameka abali mu massomero basobole okubateekeratekera obulungi.

Anyonyodde nti era ebbaluwa y’ekyalo ssibyebimu ku byetagisa okuwandiisa abaana bano nga betaaga ndagamuntu ya muzadde enjokyemu.