Amawulire

Abakulu b’amasomero basabiddwa ku by’ensoma y’abaana

Abakulu b’amasomero basabiddwa ku by’ensoma y’abaana

Ivan Ssenabulya

February 4th, 2023

No comments

Bya Ndaye Moses ne Prossy Kisakye,

Minisitule y’ebyenjigiriza esabye abakulira amasomero okufunira abayizi embeera ennungi mu kuggulawo olusoma lwa ttaamu empya etandika ku Mmande ya wiiki ejja.

Minisita ow’ebyenjigiriza ebya waggulu John Chrysostom Muyingo agamba nti agamu ku masomero galemereddwa okumalawo empisa y’okutulugunya abayizi abapya, ekikolwa ekiteeka obulamu bw’abayizi mu matigga.

Agamba nti abaana balina okukuumibwa mu bujjuvu abaddukanya amassomero, era abeenyigira mu kutulugunya abantu balina okukangavvulwa.

Era asabye abasomesa okulaba nga bagoberera ensoma empya eya siniya ku mutendera ogwa wansi.

Minisita bino yabyogedde ng’akola emikolo gy’okuggalawo omulimo gwokusunsula abayizi abagenda mu siniya esooka e Lugongo

Mungeri yemu ekibiina ekiri ku ludda oluvuganya gavumenti ekya Uganda people’s congress, kisabye gavumenti eyongere ku nsimbi eziweebwa amasomero ku mutendera gwa pulayimale.

Omwogezi w’ekibiina kino, Sharon Oyat agamba nti embeera y’amasomero n’ebibiina eraga okusoomoozebwa kungi okuli mu maaso mu kutuusa ebyenjigiriza eby’omutindo eri abayizi.