Amawulire

Abakulu bamasomero balinze kulungamizibwa ku kirwadde kye Ebola

Abakulu bamasomero balinze kulungamizibwa ku kirwadde kye Ebola

Ivan Ssenabulya

September 21st, 2022

No comments

Bya Damali Mukhaye ne Prossy Kisakye,

Abakulu bamassomero okwetoloola eggwanga bagamba nti balinze kufuna kuwabulwa okuva eri minisitule eye byobulamu kukyebalina okukola okulaba nti abayizi bakuumibwa okuva eri ekirwadde kye Ebola ekyabaluseewo mu ggwanga.

Minisitule y’ebyobulamu eggulo yakakasizza mu butongole okubalukawo kw’ekirwadde kya Ebola mu ggwanga nga kyasoose okuzuulibwa mu disitulikiti y’e Mubende.

Bwabadde ayogerako ne KFM, ssentebe w’ekibiina ekigatta abakulu bamasomero, Martin Okiria agamba nti tebannaba kufuna mpuliziganya okuva mu minisitule y’ebyenjigiriza ku masomero kye galina okukola okutangira obulwadde buno naye nga bakugoberera byonna ebinabaweebwa.

Mungeri yemu ekitongole kya Kampala Capital City Authority (KCCA) nakyo kitukiza akakiiko kakyo aka Epidemic Task Force akakwasaganya endwade ezibalukawo oluvanyuma lwa Ebola okulangirirwa mu ggwanga lino.

Mu kiwandiiko ekifulumizibwa dayirekita owe byobulamu nobutonde mu KCCA, Dr. Daniel Okello, agambye nti bali bulindaala okwenganga ekirwadde kino.

Agambye nti akakiiko ka Epidemic Task Force, kakukolera wamu nobukiiko obwa Rapid Response Teams okuzuula abayinza okuba ne kirwadde kino mu Kampala.

Okello mungeri yemu asabye bannakampala okwebereramu ngejogera bweli ennaku zino nga beewala okubeera mu bifo ebirimu abantu abangi ngobutale, paaka za taxi ne baasi, amadduka ga keedi ne biralala.