Amawulire

Abakulu bakubaganye empawa ku ggaali y’omukka

Ali Mivule

August 13th, 2014

No comments

RVR

Ababaka ba palamenti abatuula ku kakiiko akakola ku by’obuzimbi benyamidde olw’okusika omuguwa okuliwo mu bakungu ba gavumenti ku nteekateeka y’okutereeza entambula y’eggaali y’omukagga

Nga basisinkanye minisita omubeezi akola ku by’enguudo John Byabagambi, ababaka bano bagambye nti olutalo oluliwo wakati wa minisitule ekola ku by’enguudo n’ey’amateeka lwolese okukosa omulimu gwonna.

Akulira akakiiko kano, Ephraim Biraaro yye kino akitadde ku bantu abatayagala kugoberera mateeka gakugula bintu era nga bano bagenda kufiiriza eggwanga

Enteekateeka z’okuzzaawo eggali y’omukka yakutwaala obusiriivu 14

Enteekateeka eno egendereddwaamu kwanguya byantambula mu mawanag asatu aga East Africa.