Amawulire

Abakulisitaayo Mulwanyise Enguzi

Ivan Ssenabulya

July 9th, 2017

No comments

Bya Moses Ndaye

Ssabalabirizi we kanisa ya Uganda Kitaffe mu Katonda, The Most Reverend Stanley Ntagali asabye abakulistaayo okuyamb ku gavumenti okulwanyisa omuzze gwobuli bwenguzi mu gwanga, kyagamba nti enguzi yeremesa enkulakulana.

Bwabadde awa obubaka bwe mu kuggulawo ekkanisa ya St. Francis Chapel eyaziddwa obugya ku kasozi kabayivu e, Ssabalabirizi ategezezza nti abantu 80% mu gwanga bakulisitaayo, kalenga kyewuinyisa okulaba nti enguzi ekula bukuzi songa yandibadde ekendeera.

Agambye nti kano kabonero akenkukunala akalaga engeri abantu gyebesambye Katonda nebasalawo okwonoona.

Ssabalabirizi avumiridde nobutabanguko mu maka, mu bazadde ngaaba balaba.

Alaze okutya nti abaana nabakyala bebasinze okkosebwa olwobutabanguko nokulwanagana mu maka.

Ekkanisa eno yaziddwa obugya nga kati erina obusobozo okutuuza abantu 1200, okuva ku bantu 300 bebaddenga etuuza.