Amawulire

Abakulisitaayo bakomyewo mu Kanisa eyakolebwamu Obwenzi, Baagitukuza

Abakulisitaayo bakomyewo mu Kanisa eyakolebwamu Obwenzi, Baagitukuza

Ivan Ssenabulya

July 10th, 2023

No comments

Bya Fred Muzale,

Abakkiriza e Kayunga abaali bazira okudda mu kanisa mwe bakwatira abaali benderamu ku kituti, bamaze ne bakomawo oluvanyuma lwokutukuzibwa.

Abakulisitaayo ba Bugonya Church of Uganda bebaali bakomba kwerima obutadda mu kanisa oluvanyuma lwokukwatiramu omusajja nga yeberese ku mukazi basinda omukwano ku katuuti ka mukama mu ssabiiti ewedde.

Bano kigambibwa nti bayita mu dirisa ne bagwa munda ne batandika okukola ebyabwe.

Wabula olunaku lweggulo, e kanisa eno yasabiddwa okugigwako ekikwa era kigambibwa nti kati ntukuvu.

Aaron Kamugisha, omukulembeze mu kanisa eno atubuulidde nti bafunye bakabona okuva ku kigo kye Kitimbwa e Bbaale nga bakulembedwamu ssaabadikooni Dan Kisitu, ne basabira enyumba ya katonda ku lwokuna lwa ssabiiti ewedde.