Amawulire

Abakulira UMEME basisinkanye omukulembeze we gwanga.

Ivan Ssenabulya

March 28th, 2018

No comments

Bya Ben Jumbe.

Omukulembeze we gwanga Yoweri Kaguta Museveni kyadaaki asisinkanye  abakulu okuva mu kitongole kya UMEME , nga bano bamusanze mumakaage wano e Entebbe, nga ensonga ezibaluma zakugaana kuzza bujja ndagaano yaabwe kwebagabira amasanyalaze.

Bano mumaka ga president baagenzeeyo,kawungezi kayise nga  bakulembedemu sentebe w’olukiiko lwa UMEME Patrick Bitature.

Kinajukirwa nti contract ya Umeme egwako mu mwaka gwa 2025 , kyoka omukulembeze we gwanga yasabye ministry ekola ku by’amasanyalaze obutageza kubongera kadde kalala, egyo bwegigwako bagende ewaka.

Mukusalawo  kuno president yagambye nti ministry egwana okunoonya , company endala eziyinza okutuusa amasanyalaze kubanayuganda a ku beeyi eyawansi.

Kati tekinamanyika oba omukulembeze we gwanga yakyusizza weyabadde asibidde.