Amawulire

Abakulira Ekidiinidiini Bakwatiddwa

Ali Mivule

May 9th, 2014

No comments

 

Lamcek Kigozi

Abakulembeze b’ekiidiinidiini 10 ababadde bawabya abantu baleme kwewandiisa kufuna ndaga Muntu bakwatiddwa mu bizinga by’ebuvuma .

Ekibinja kino ekikozesa enamba 666 kibadde kisimbye amakanda ku mwalo gwe Mwiriri nga era bawakanya enteekateeka za gavumenti ezisinga.

Omwogezi wa poliisi mu bitundu bya  Savanah Lameck Kigozi ategezezza nti abalala bemuludde nebadduka naye nga bakukwatibwa nabo bavunanibwe nebanaabwe.