Amawulire

Abakulemebeze batongoza okuwandisibwa kwábavuzi ba Taxi mu ggwanga

Abakulemebeze batongoza okuwandisibwa kwábavuzi ba Taxi mu ggwanga

Ivan Ssenabulya

October 20th, 2022

No comments

Bya Prossy Kisakye,

Ekibiina omwegatira abavuzi ba taxi ne bakondakita mu ggwanga lyonna ki Federation of Uganda Taxi Operators (FOUTO) olwaleero kitandise omulimu gw’okuwandiisa abaddukanya takisi bonna mu Uganda.

Bwabadde ayogerera ku mukolo gw’okutongoza omulimo guno mu Kampala, ssentebe w’ekibiina kino, Rashid Ssekindi agambye nti mu kawefube ono abavuzi ba takisi bonna ne bakondakita bakuwandiisibbwa, nekigendererwa ekyókulongoosa ebyentambula mu taxi.

Okuwandiika kutandikidde ku baddereeva ne kondakita abakolera wano mu kibuga Kampala era oluvannyuma agenda kubunyisibwa mu bitundu by’eggwanga ebirala.

Ssekindi ategeezezza nti bagala okwanguyirizako KCCA okuzuula omuwendo omutuufu ogwa takisi ezikolera mu kibuga okusobola okuziteekateeka obulungi.

Mungeri yemu agasseeko nti omulimo guno era gugenda kuyamba okumalawo abantu ababi ababadde bakozesa entambula ey’olukale okukola obumenyi bw’amateeka.