Amawulire

Abakulembeze mu DP balabuddwa ku byomukago gwa Mao

Abakulembeze mu DP balabuddwa ku byomukago gwa Mao

Ivan Ssenabulya

August 23rd, 2022

No comments

Bya Prossy Kisakye,

Ekiwayi kya Democratic Party (DP) ekiri ku ludda oluvuganya gavumenti nga kikulemberwa Dr Lulume Bayiga balabudde abakulembeze b’ekibiina kino obutakkiriza nguzi etegekeddwa okubaweebwa ya obuwumbi bwa Shs3 okusobola okukakasa endagaano y’okukolagana wakati wa DP ne gavt ya NRM.

Bwabadde ayogera eri bannamawulire mu Kampala olwaleero, Bayiga alumiriza okufuna amawulire nti Abakiise ku kakiiko akafuzi aka DP, akabondo ka babaka ba palamenti aba DP ne DP National Council bagenda kufuna shs3M buli omu okugattako emikono gyabwe ku kiwandiiko ekituumiddwa *Resolutions of the National Organ of Democratic party* ekikakasa nti DP yawagira era n’ekakasa endagaano y’okukolagana ne gavt NRM.

Kigambibwa nti ekiwandiiko kiraga nti DP mu kulonda kwonna okujja tegenda kusimbawo bavuganya mu kitundu kya Buganda wabula egenda kuwagira abo aba-NRM

Mungeri y’emu Bayiga agamba nti ekiwayi kye kiteekateeka kugenda mu kkooti okufuna okuwabula Mao avve ku bwapulezidenti bwa DP.