Amawulire

Abakulembeze e Mukono beyawuddemu kuby’ekibira kye’Namyoya

Abakulembeze e Mukono beyawuddemu kuby’ekibira kye’Namyoya

Ivan Ssenabulya

November 29th, 2021

No comments

Bya Ivan Ssenabulya

Ssentebe wa disitulikiti ye Mukono n’omukubiriiza w’olukiiko lwa disitulikiti bayingidde mu nsonga zekibira kye Namyoya, ekiriko enkalu nendoliito wakati wabakulembeze abenjawulo.

Ekibiira kino kisangibwa mu ggomboloola 3 okuli Nama, Kyampisi ne divizoni ye Goma, ngabakulembeze abamu bagala ekitundu ku kibira kikyusibwe okutekako enkulakulana.

Kati Rev. Dr Peter Bakaluba Mukasa ne Sipiika Betty Nakassi, bagambye nti tajja kuwagira kusanyawo kibira kino nga tolina kirala kyasimbye.

Bano bagamba nti waddenga abakulembeze aba munisipaali ye Mukono, bawagira okujjawo ekitundu ku kibira kino, kinaaba kikyamu.

Bagamba nti disitlikiti efirirddwa bibira bingo, naye nebatafunamu.