Amawulire

Abakulembeze e Mukono batongozza ekifo abalwadde webanafunira obujjanjabi nga bwakusasulira ku dwaliro lya gavumenti

Abakulembeze e Mukono batongozza ekifo abalwadde webanafunira obujjanjabi nga bwakusasulira ku dwaliro lya gavumenti

Ivan Ssenabulya

April 18th, 2023

No comments

Bya Diphas Kiguli. Obukulembeze bwa district ye Mukono bufunvubidde ku kyokutekawo ekiwayi ku dwaliro lya gavumenti e Mukono abalwadde abasobola okusasulira obujanjabi gyebanagenda okusinga abasawo okujja ku balwadde ensimbi mu ngeri ey’amenkwetu ekintu ekimenya amateeka.

Abakulembeze bagamba nti mu kifo abantu ky’okujjibwako ensimbi mu bukyamu, basazeewo bakitongoze abasobola okusasula basasule ate abatasoboola bagende mu kifo ekya bonna.

Ssentebe wa district ye Mukono Rev. Dr. Peter Bakaluba Mukasa agamba nti bafunnye okwemulugunya emirundi mingi nti abantu abeyita abasawo bajja ku balwadde ensimbi kyagamba nti kati bagala kitongozebwe nga buli awulira nti ayagala kusasula agenda ewasasulibwa.

Agamba nti gavumenti yakufuna ku nsimbi ezinayambako n’okugulira eddaggala mu dwaliro lino okusinga okuggwera mu nsawo z’abajanjabi wabula nga bazifuna mu ngeri emenya amateeka.

Bakaluba era agamba nti batandiise n’okunoonyereza ku basawo abasinze okusongwamu ennwe okumannya obutuufu bw’ensonga era bwebanakizuula nti kituufu anakwatibwa kakumujjuutuka.